208 – Mbe Wuwo Nzena
208. Mbe Wuwo Nzenna… ~ Wholly Thine
1 of 3 verses
Kyensaba Yesu mbeere wuwo,
Nnung’anya,nnung’amya
Nkole by’osiima so si byange
Nkusab(a) onnyambe
Chorus:
Mbe wuwo (Yesu)
Mbe wuwo(Yesu)
Ekyo nze Kyenkusaba,
Mbe wuwo (Yesu) Mbe wuwo (Yesu)
Mbe wuwo nzeena Yesu
2 of 3 verses
Eby’ensi byonna bigasa ki, Wotali, Wotali?
Olw’erinnya lyo ka mbireke,
Ggwe byonna gyendi
3 of 3 verses
Ng’amasanyu g’ensi nagleka,
Nsembeza, Nsembeza;
Bwemba w’oli
mba ninna byonna,
Yes(u) onsembeze