S.D.A Hymnal 570
17. Si Nze, Naye Kristo… ~ Not I, But Christ…
1 of 4 verses
Si nze, naye Kristo
alabikenga,
Si nze, naye Kristo
awulirwe;
Si nze, yekka
agulumizibwenga,
Si nze, Kristo
afuga (o)bulamu.
2 of 4 verses
Si nze, naye Kristo
abagumyenga,
Yekka asangule
amaziga;
Si nze, naye
asitule
(o)mugugu.
Si nze, Kristo
asirise (o)kutya.
3 of 4 verses
Kristo yekka, so si
(e)bigambo byange,
Kristo yekka, so si
amalala;
Kristo yekka, si
eddoboozi lyange,
Kristo yekka, si
kweyagala nze.
4 of 4 verses
Si nze, naye Kristo
agaba byonna,
Si nze, Kristo
ampa obulamu;
Kristo yekka,
omwoyo
n’omubiri,
Kristo yekka,
obugagga bwange.