205 – Mu Mutende Omununuzi

205. Mumutende Yesu omununuzi… ~ Praise Him, Praise Him!

1 of 3 verses
Mumutende Yes(u) Omununuzi waffe
Muyimbe ku kwagala kw(e) okungi
Mumutende bamalayika mu ggulu
Erinnya lye liweebwe ekitiibwa!
Ng’omusumba anakuum(a) abaana be
Mu mikono gye abasitule

Chorus:
Mumutende Ow’ekitiibwa asinga;
Mumutende N’ennyimba ez’essanyu

2 of 3 verses
Mumutende Yes(u) Omununuzi waffe
Olw’ebibi byaffe yajeezebwa
Ye lwe lwazi (e)ssuubi ery’obulokozi
Mumusuute eyakomererwa Yimba ku ye!
Yetikk(a) ennaku zaffe Wa kwagala
(o)kungi okwewuunyisa

3 of 3 verses
Mumutende Yes(u) Omununuzi waffe!
Ab’omuggulu mumuyimbire!
Yes(u) afuga emirembe n’emirembe
Nga Kabaka atikkirwe engule!
Kristo ajja mubuwanguzi ku nsi
Obuyinza n’ekitiibwa bibye

Back to top button