130 – Tulina Omukwano Gwaffe
130. Tulina Omukwano Gwaffe. … ~ What a Friend We Have in Jesus!…
1 of 3 verses
Tulin(a) Omukwano gwaffe,
Atuyamba bulijjo.
Bwe tunamugoberera,
Tatugobere (e)bweru.
Wano tetufun(e)
eddembe,
Wano ltufun(a) ennaku;
Omulokozi Ye Yesu,
(O)mukwano
gw’abonoonyi
2 of 3 verses
Tulin(a) Omukwano
gwaffe,
Alin(a) amaanyi mangi;
N’olwekyo aboluganda,
Tulemenga okutya.
Tumwesige atukuuma,
Tatuleka mu bubi
Yesu ye mukuumi waffe,
(O)mukwano
gw’abonoonyi.
3 of 3 verses
Tulin(a) Omukwano
gwaffe,
Atulu’ngamya fenna;
Mu kizikiz(a) ekikutte,
Ye musana gw’abantu.
Tulemenga okunyoma,
Omukisa gwa Yesu,
Ka tutendereze oyo
(O)mukwano
gw’abanoonyi