Church Hymnal 578
16. Nkwetaaga Ayi Mukama… ~ Blessed Lord, How Much I Need Thee…
1 of 4 verses
Nkwetaaga Ayi Mukama
Nze omunafu, (o)mwonoonyi;
Onkwatenga ku mukono,
ompenga ku maanyi go
CHORUS:
(O)lwa leero, buli (e)ssaawa,
Nkwetaaga ayi Mukama!
(O)lwa leero, buli (e)ssaawa,
Beera nange, tondeka.
2 of 4 verses
Nyambaza obuwombefu
Nze ajjudde (a)malala;
Ntegeeza bwend(i) omunafu
Nsembeza kumpi gy’oli.
3 of 4 verses
Mu Ggwe mbeera n’emirembe
Bwembeera nzekka nnemwa;
Nkume mu lugendo lwange,
Ggwe (e)ssuubi lyange lyokka
4 of 4 verses
Byonn(a) ebinanjijiranga
mu ssanyu ne mu nnaku,
Ku Ggwe kwe nanywereranga
Ggwe kiwumulo kyange.