41 – Omwoyo Omutukuvu

S.D.A Hymnal 211

41. Omwoyo Omutukuvu… ~ Holy Spirit, Faithful Guide…

1 of 3 verses

Omwoy(o)
Omutukuvu,
Omulu’ngamya waffe,
Tukwate ku mukono
Fenna abatambuze,
Abalina ennaku
Tuwulize bulungi,
Eddobooz (i) eddungi
nti:
“Mujje, nze
nabatuusa.”

2 of 3 verses

Omubeezi (o)mwesigwa,
Atuyamba bulijjo,
Totuleka mu ntiisa
Ey’enzikiza y’ensi.
(O)tusanyuse mu nnaku
Bwe tunawuliranga,
Eddobooz(i) eddungi
nti:
“Mujje, nze
nabatuusa.”

3 of 3 verses

(O)lugendo bwe
luliggwa,
Nga tulindirira Ggwe,
Eby’ensi bwe biriggwa
Ng’olin(a) amaanya
gaffe,
(O)tuyise mu mayengo.
(O)lw’omusayi gwa Yesu,
Eddobooz(i) eddungi nti:
“Mujje, nze nabatuusa.”

 

Back to top button