S.D.A Hymnal 82
06. Mwe Amawanga Ag’oku Nsi… ~ Before Jehovah’s Awful Throne…
1 of 4 verses
Mwe amawanga (a)g’oku nsi,
Mujje tuvunname ffenna!
Awali enteb(e) enkulu,
Eya Mukama Katonda
2 of 4 verses
Nnanyini buyinza bwonna,
yatuggya munfuufu fenna;
Ffe bwe twawaba ng’endiga,
Yayanguwa (o)kutunoonya
3 of 4 verses
Tunajjuza emiryango gye,
Ennyimba ez’amatendo;
Tumwebaze n’eddoboozi, Nga
tumutendereza nnyo
4 of 4 verses
(A)mateeka ge ga mirembe,
(O)kwagala kwe kuwangula;
(A)mazima ge tegakyuka,
Gabaawo emirembe gyonna.