15 – Yesu Alifuga Wonna

S.D.A Hymnal 227

15. Yesu Alifuga Wonna Wonna… ~ Jesus Shall Reign Where’er the Sun…

1 of 4 verses

Yesu alifuga wonna
Wonn(a) omusana
we gwaka;
Obwakabaka bwe
bufuge
(O)kutuusa ennaku
zonna

2 of 4 verses

Abantu b’
ennimi zonna,
Batenderez(e)
ekisa kye;
Abaana
banabuuliranga
Obulungi
bw’erinnya lye.

3 of 4 verses

Omukisa gwe
we guli
(A)basibe bafune(e) eddembe;
Abakooye
banawumula,
Abetaaga ne
bakutta.

4 of 4 verses

Buli muntu yimirira,
Otende nnyo Kabaka wo;
Bamalayika ka bayimbe,
Ensi eddemu,
“A-miina.”

 

Back to top button