166 – Tusanyuka Yesu Ajja

S.D.A Hymnal 125

166. Tusanyunka Yesu Okujja… ~ Joy to the World…

1 of 4 verses

Tusanyuka Yesu Ajja!
Ens(i) emwanirize;
Buli omu yetegeke,
Buli omu yeteeketeeke,
N’ebitonde byonna
Eby’eggulu n’ensi.
Byonna bimutendereza”

2 of 4 verses

Yesu ajja okufuga!
Fenna tuyimbe nnyo;
Ensozi n’emigga byonna,
Ensozi n’emigga byonna,
Bimusanyukire,
Bimutendereze;
Ka biyimbenga n’essanyu.

3 of 4 verses

Yesu ajja (o)kulongosa
(E)bintu byona by’ensi!
(A)maggwa gonna ag’ekibi,
(A)maggwa gonna ag’ekibi,
Go tegaliddayo, Okuzisa ensi.
(E)kikolimo kiweddewo.

4 of 4 verses

Ajja (o)kuleeta eddembe!
Amawanga gonna
Galiraba (e)kitiibwa kye,
Galiraba (e)kitiibwa kye,
Nga gatendereza,
Era gasanyuka.
Okwagala kwe okungi.

 

Back to top button