250 – Ye Yanzigya Mu Ttosi
250. Ye Yanzigya Mu Ttosi ~ He Brought Me Out…
1 of 4 verses
(O)mutima gwange gwajjula ennaku
(E)kibi nga kinsudde wala mu bunnya;
Nga ndi mu ttosi nnakowoola Yesu
Eyanzigyayo n’amp(a)
Essanyu lingi.
Chorus:
Yanzigya mu bitosi wansi,
N’ateeka ku lwazi Ye Yesu
Antaddemu oluyimba nnyimbe
Ka nnyimbe nnyo,
ALERU-YA!
2 of 4 verses
Yanteeka lu lwazi olugumu ennyo,
Kwennyimiridde era siivengako;
Nga ndi ku Yesu sirina kya kutya,
Mu kisa kye nnindirira engule
3 of 4 verses
Ye y’amp(a) oluyimba olupya
nnyimbenga
(E)misana n’ekiro mmutendereze;
(O)mutima gwange gujjude
emirembe,
Ka ntendereze
Yes(u) eyannunula.
4 of 4 verses
Ka nnyimbe mmutende olw’ekisa kye,
(A)bantu bonna balab(e) obulingi bwe
Ka nnyimbe ku bulokozi bwe
bwonna,
Abantu bonna badde eri Yesu