211 – Eyazaawa Azaawuse

211. Eyazaawa Azaawuse.… ~ Ring the Bells of Heaven…

1 of 3 verses
Mukub(e) ennanga munsi Ne mu ggulu,
Omwan(a) eyazaawa azaawuse;
Laba Katonda nga amwaniriza
Mu ssanyu ng’amusisinkana

CHORUS:
Bamalayika bayimbe nnyo
Mukitiibw(a) ennanga zivuge
Eggye ly’abanunul(e ) nga tuyimba
(O)Luyimba lw’omwana gw’endiga

2 of 3 verses
Mukub(e) ennamga munsi Ne mu ggulu
Eyazaawa asonyiyiddwa;
Anunuliddwa mu ns(i) en(o) ey’ekibi,
Lab(a) azaaliddwa buggya nate

3 of 3 verses
Embaga etegekeddwa muyimbe!
Oluyimba(a) olw’obuwanguzi,
Tegeeza ensi Yonna ewulire;
Nt(i) eyazaawa wuun(o) azaawuse

Back to top button