248 – Yita Abalwanyi

248. Yita Abalwanyi.… ~ Sound The Battle Cry…

1 of 3 verses

Yit(a) abalwanyi,
Lab(a) omulabe!
Laga ebbendera ya Yesu;
Mwesibe byonna,
Munywere mwenna,
Mulwanirir(e) Ekigambo kye

Chorus:

Mu-zuu-ku-ke,
Mukungaane mwenna,
Mwetegeke n’ekigambo kye;
Mu-ge-nde
Nga mwogera “ozaana”
Kristo ye muduumizi waffe.

2 of 3 verses

Ka tutambule,
tumwolekere,
Tuteekwa okuwagula;
(E)ngabo, (e)bendera,
bimasemase;
Amazima ge tegalemwa

3 of 3 verses

Katonda waffe, otuwulire
Otuyambe n’ekisa kyo
(O)lutalo luggwe nga
tuwangudde
Twambazibwe engule mu
ggulu!

Back to top button