246 – Tambulira Mu Musana
246. Tambulira Mu Musana ~ Walk in the Light…
1 of 4 verses
Tambulira mu musana
Yesu ggwe musana
Omwoyo Omutukuvu
Anakusanyusa
Chorus:
Tambulira
(Tambulira mu musana gwa katonda)
Mu Musana
(Tambulira mu musana gwa Katonda)
Tambulira
(Tambulira mu musana gwa Katonda)
Mu musana gwa Katonda
2 of 4 verses
Tambulira mu musana
Ogw’ekitiibwa kye
(E)ttabaaza y’abavubuka
Abesesiga Yesu
3 of 4 verses
Tambulira mu musana
Mu nsi eyenzikiza
Omusana gwe bwe gwaka
(E)nzikiza edduka
4 of 4 verses
Tambulira mu musana
Katond(a) akwagala
Ye Mukwano gw(o) ow’okunsi
Era ne mu ggulu