245 – Emikisa Emingi

245. Emikisa Emingi ~ Showers of Blessings

1 of 4 verses

Walibaawo emikisa,
Kisuubizo kya Yesu
Walibaaw(o) okudda obuggya,
Okuva eri Yesu

Chorus:

E-mi-kisa gyo,
Yesu ffe gyetwetaaga;
(E)mikis(a) egy’okudda
obuggya,
Tusab(a) ogitwongere

2 of 4 verses

Walibaawo emikisa;
Egituzza obuggya;
Ku nsozi ne mu biwonvu,
(E)mikisa mingi gijje

3 of 4 verses

“Walibaawo emikisa;”
Tusaba gikke ku ffe,
Otuzz(e ) obugyya(a) olwa leero
(E)Kisuubizo kyo kijje.

4 of 4 verses

“Walibaawo emikisa;”
Singa leer(o) ogituwa!
Ka tweneny(e) ebibi byaffe
Yesu otusonyiwe!

Back to top button