10 – Jjangu Yesu Obe
S.D.A Hymnal 334
10. Jjangu Yesu Obe Mu Nze… ~ Come Thou Fount…
1 of 3 verses
Jjangu Yesu obe mu nze,
Lungamy(a) omwoyo
gwange,
Guyimbeng(a) ebiro
byonna okukutendereza.
Njigiriza okusinza,
ndageng(a) obulungi bwo,
Esuubi ly’amaka gaffe
nga linjijuzza assanyu.
2 of 3 verses
Nyimus(a) eddoboozi
lyange, nga nsab(a)
okuyamba kwo,
Olw’okwagala kwo kungi,
olintuusa mu ggulu.
Yesu (O)mununuzi wange,
Ggwe (e)yamponya
okuffa,
N’oggyawo ebyonono
byange, bwewawangul(a)
okufa.
3 of 3 verses
Yesu wang(e) okwagala
kwo, bulijjo kweyongere,
Olw’ekisa kyo ekingi,
kanywererenga
ku ggwe.
Era nnem(e) okukuvako,
mbeere mu kwagala
kwo,
Twala Obulamu bwange,
Butegeker(e) eggulu