S.D.A Hymnal 98
38. Ka Nnyimbe ku Buyinza … ~ I Sing the Mighty Power…
1 of 3 verses
Ka Nnyimbe ku
buyinza bwo
Katonda wa byonna;
Ennyanja zakolebwa
Ggwe,
Awamu n’ebbanga.
Nebaza obuyinza bwo
Obwas(a) omusana
Ggwe olagira omwezi
N’emunyenye zonna.
2 of 3 verses
Nebaza obulungi bwo
Ggwe atuw(a) emmere,
Essanyu n’ebintu
byonna,
Era birungi nnyo.
Emirimu gyo mikulu
Mu bantu bo bonna.
Bwe ndowooza ensi
eno,
Era n’eggulu lyo.
3 of 3 verses
Buli kintu kyonna ku
nsi.
Kirag(a) amaanyi go;
Ebbanga ne kibuyaga
Ggwe obiragira
Obulungi buva gyoli,
Byonna Ggw(e)
obikuuma
Era buli kintu
kyonna
Kiri mu maaso go.