186 – Mujje Nga Mweterereka

186. Mujje Nga Mweterereka.… ~ Rest In The Lord; From Harps Above…

1 of 6 verses
Mujje nga mweterereka
Mu maaso ga Yesu;
Okwagaala kwe kujjuze,
(E)myoyo gyammwe,

2 of 6 verses
Wulira; ggw(e) alindirira,
(o)mugole wo leero,
Mu kwagal(a) okutagwawo,
Mugattibwe.

3 of 6 verses
Naawe akkirirza wano,
Okumufumbirwa;
Laba Kitaff(e) awulira,
(o)bweyamo bwo!

4 of 6 verses
Nammwe ababetooloodde,
Okubasabira;
Katonda waffe akakasa
(e)biraayiro.

5 of 6 verses
Mujje nga mweterereka:
Mukama waff(e) ajja,
Okutusembeza gy’ali,
Mugolewe.

6 of 6 verses
Bwe mutyo mweterereke:
Abagira bonna,
Omwoyo omutukuvu,
Abasaba

Back to top button