176 – Mu Kibuga Kya Katonda
S.D.A Hymnal 432
176. Mu Kibuga Kya Katonda.… ~ Shall We Gather At The River…
1 of 4 verses
Mu kibuga kya katonda,
Okuva mu ntebe ye,
Waliwo omugga (o)mulungi
oguleeta obulamu.
Chorus:
Tuliku’ngana ku mugga
ogwo gwetulisanyukirako;
Fenna twagal(a) okutuuka
ku mugga gw’obulamu.
2 of 4 verses
Yesu omusumba waffe
Anatulung’amyanga
Mu ddundiro ly’okwesiima,
kumpi n’omugga guli.
3 of 4 verses
Naye nga tetunatuuka
Awaali omugga guli,
Otutikkul(e) emigugu
Egy’ennaku nnyingi nnyo.
4 of 4 verses
Olugendo lwaffe luno
Lwa nnaku si nnyingi nnyo,
Ffe tetulirwa kutuuka
Okwetaba ne Yesu.