81 – Ennaku Endala Ziwedde
81. Ennaku Endala Ziwedde .… ~ Another Six Days’ Work …
1 of 4 verses
Ennak(u) endala ziwedde,
Sabbiti yaffe etuuse,
Oze Buggy(a) omwoyo ggwange
Ku lunaku lwo Mukama.
2 of 4 verses
Tusinze Yesu ow’ekisa,
Eyatuwa olunaku;
Kwe yateeka emikisa,
Egisinga obulungi.
3 of 4 verses
Twebaza Omununuzi,
N’eddoboozi ery’essanyu,
Atuwe okuwummula,
Kw’awummuza abantu be.
4 of 4 verses
Lino ly’eddembe lya Yesu,
Lye tuweebwa ng’omusingo,
Ogw’ekiwummulo kiri,
Eky’essanyu ejjerere.