132 – Mukama Ye Musumba
132. Mukama Ye Musumba.… ~ The Lord is My Shepherd…
1 of 4 verses
Mukama ye
Musumba setagenga,
Angalamiza
mu muddo omuto;
Antwal(a) awali
oluzz(i) oluteefu
Akomyawo emmeme
yange mu nteeko.
2 of 4 verses
Annu’nganya
Mu butuukirivu bwe,
Newakubadde nga
mbeera mu kufa
Nga Ggw(e) oli nange
seralikirira,
(O)luga lwo n’omugga
gwo bye binkuuma.
3 of 4 verses
Abalabe ne bwe
babaw(o) ondiisa,
Onsiize amafuta go
ku mutwe ;
(E)kikompe kyange
kijjud(d) omubisi,
Nze knabeeranga
ne Yesu bulijjo.
4 of 4 verses
(O)bulungi bwo
n’ekisa kyo Kitange,
Kabaka
era Katonda wange nze;
Bibeerenga ku nze
buli gye mbeera, okutuusa
lw’olimpa engule yo.