S.D.A Hymnal 186
49. Nzudde Ow’Omukwano… ~I’ve Found a Friend…
1 of 4 verses
Nzuddeyo ow’omukwano,
Yasook(a) okwagala nze.
N’ampalula mu- kisa kye,
Ekyakkirizisa nze.
Leero ndi muddu we,
Naye Abaddu be ba
ddembe;
Nze wuwe, na-ye wange,
(E)mirembe n’emirembe.
2 of 4 verse
Nzuddeyo ow’omukwano
Yaff(a) okundokola nze,
Kubanga obu-lamu bwe
Ye bwe yagabira nze;
Nze sirina obugagga.
Ebyange bibye byonna;
Newaayo mu mi-kono gye
Mukwano gwange ddala.
3 of 4 verses
Nzuddeyo ow’omukwano
Yaweebwa (a)maanyi
gonna
Ge galintusa ewuwe;
Sitya balabe bonna.
Eby’egulu mbirengera
Bimyansa nnyo ng(a)
efeza:
Kale nkole, nfu-be, nwane!
Alidd(a) Okumpummuza
4 of 4 verses
Nzuddeyo ow’omukwano
Mulungi. ow’ekisa;
gabira ku- maanyi ge,
Annu’ngamy(a) er(a)
andiisa.
Ebiriwo n’ebirijja
Tebirinjawukanya;
mirembe egitaggwawo
u mukwano gwange.