209 – Nga Ntuuse Eka

209. Nga Ntuuse Eka… ~ When I get Home

1 of 3 verses
Ndyambal(a) engule ya Zaabu mu ggulu
Nditikkulw(a) omugugu nga ntuus(e ) eka
Ndyambazibw(a) ebyeru,
Ndiyimb(a) oluyimba
Olw’obulokozi Nga ntuus(e ) eka

Chorus:
Nga ntuus(e) eka Nga ntuuse eka
Ennaku yange yonna
Eriggwawo Nga ntuus(e) eka
Nga ntuuse eka Ennaku yange
yonna Eriggwawo

2 of 3 verses
Ekizikiza kyonna kiriggwawo
Ndirab(a) ekitangala nga ntuuse eka,
(O)musana gw’eggulu,
Gummulise wonna Gunkulembere
nze ntuuke eka

3 of 3 verses
Ndirab(a) amaaso ga Yesu nga ntuuse
Nnyimbe ku kisakye ekyandokola
Nnyimirire waali, Mu ssanyu musinze
Emirembe gyonna Nga ntuus(e) eka.

Back to top button