162 – Esuubi Ly’essanyu

162. Essuubi Lya Ssanyu… ~ There is a Blessed Hope…

1 of 4 verses

Essubi lya ssanyu
lye tulina fenna,
Lisinga essanyu ly’ensi
eriggwaw(o) amangu.

2 of 4 verses

Tulin(a) emmunyenye
emulisa wonna,
Emalawo enzikiza
y’ekibi n’entaana.

3 of 4 verses

(E)ddoboozi we liri
lyogera bulungi,
Nti “Katonda akwagala,
totya gum(a) omwoyo.”

4 of 4 verses

(O)kuva Gologosa,
evaay(o) eddoboozi,
Erirangirira ggwe nti,
Asonyiy(e) ebibi.

 

Exit mobile version