175 – Omulokozi Ndimulaba

S.D.A Hymnal 206

175. Omulokozi Ndimulaba.… ~ Face to Face…

1 of 4 verses

(O)mulokozi
ndimulaba
Ddala kiriba kitya!,
Bwe ndirabagana
n’oyo Yesu
eyanfiirira.

Chorus:

Ndimulaba mu kitiibwa,
Bw’alijjira ku bire,
Maaso n’amaaso,
Mukama
Ndimulaba ye
nnyini!

2 of 4 verses

Siyinza
okumulaba
olw’enzikiza y’ensi,
Naye olunaku lujja.
Ndabe ekitiibwa kye!

3 of 4 verses

Tulijaguza
nnyo nnyini,
(E)nnaku nga
ziweddewo;
Ensobi nga
zigoloddwa
Tulibeera mu
ddembe.

4 of 4 verses

Tuliba basanyufu
nnyo,
okumutunulako;
Yesu omununuzi
waffe!
Kris-to atwagal(a)
ennyo

Back to top button