180 – Waliwo Ensi Ennungi

S.D.A Hymnal 428

180. Waliwo Ensi Ennungi Ennyo .… ~ Sweet By and By…

1 of 3 verses
Waliwo ensi ennungi ennyo
(O)lwokukiriza tugiraba;
Mukama atulindiridde,
Okutusembeza ffe gy’ali.

Chorus:
Mu ssanyu jjerere,
Tulisisinkana mu Ggulu,
Mu ssanyu jjerere,
tulibeera n’omulokozi.

2 of 3 verses
Mu nsi eyo tunaayimbaga:
Ennyimba ez’essanyu eringi,
Eyo tewaliba kukaaba,
Tulibeera mu ddembe lyoka.

3 of 3 verses
Eyo Kitaff(e) ow’omuggulu,
Tunasuutang(a) obulungi bwe,
Olw’ekirabo Ky’okwagala;
Era n’emikisa gyatuwa

Exit mobile version