145 – Twala Ensi, Ompe Yesu

145. Twala Ensi, Ompe Yesu.… ~ Take The World, But Give” Me Jesus…

1 of 4 verses
Twala ensi, ompe Yesu,
Eby’ensi tebirwawo;
Naye (o)kwagala kwa Yesu,
Kwo kwa mirembe gyonna.

Chorus:
Ekisa kya Yesu kingi!
Nga wa kwagala kungi!
Oyo eyatununula,
N’atuwa obulamu.

2 of 4 verses
Twala ensi, ompe Yesu,
Ye anasnyus(a) omwoyo;
Yesu bw’aba nga ankuuma,
Siriiko kye ntya kyonna.

3 of 4 verses
Twala ensi, ompe Yesu,
Bw’aba nga anjakira;
“Mu lugendo lwange lwonna,
Nafuna omusana.

4 of 4 verses
Twala ensi, ompe Yesu,
Nze nesiga kufa kwe;
Okutuusa lw’alintwala,”
Ne mulaba n’amaaso.

Back to top button