36 – Nalyoka Ne Nkusenga
S.D.A Hymnal 310
36. Nalyoka Ne Nkusenga Ggwe… ~ Oh Happy Day!…
1 of 4 verses
Nalyoka ne nkusenga gwe,
Omulokozi Katonda,
Kye nvudde nsanyuka nnyini.
Ne njatula bwe nsanyuse.
Chorus:
Nsanyuse, Nsanyuse;
Yesu yannazako ebibi.
Y(e) anjagaza by’ayagala;
Ansanyus(a) ennaku zona;
Nsanyuse, Nsanyuse,
Yesu yanazaak(o)ebibi.
2 of 4 verses
Namusenga n’atangoba;
Nze ndi wuwe, Naye wange;
Yampita ne nditegeera
(E)ddoboozi lye nga lya Yesu.
3 of 4 verses
Edda nasagasagana,
Kakano nteredde ku ye:
Sikyamusenguk(a); alina
Mukama y’alina byonna.
4 of 4 verses
Nalayira nti ndi wuwo
Kankyogeranga bulijjo.
Era bw’olijja Mukama,
Ndisanyuk(a) okub(a) owuwo.