128 – Bwe Tuba Ne Yesu

128. Bwe Tuba Ne Yesu.… ~ When We Walk With the Lord…

1 of 5 verses
Bwe tuba ne Yesu,
Nga tumugondera
Atuw(a) omusana mu kkubo;
Tukola by’asiima
Aba wamu naffe
Ne bonna abamugondera.

Chorus:
Mugondere, Tewali mulala
Wabula Yesu yekka ,
Gw’oba ogondera

2 of 5 verses
Tewaba nzikiza Tewabaawo bire,
Omusana gwe gutwakira;
Okutya kuggwawo,
Tewaba kwekanga,
Aba naffe abamugondera.

3 of 5 verses
Tukola lwa ssanyu Naye si lwa nnaku;
Yesu alituwa empeera,
Mu kufiirwa kwaffe Mu kulumwa okungi,”
Aba naffe bwetumwesiga.
Chorus:

4 of 5 verses
Tetunategeera
Kwagala kwe kwonna,
Okutuusa lwe tulyewaayo,
Kubang(a) ekisa kye N’essanyu ly’agaba
Byabo bokka abamwesiga.

Exit mobile version