163 – Oba Ekiseera
S.D.A Hymnal 207
163. Oba Ekiseera Kirituuka Ku Nkya… ~ It May Be At Morn…
1 of 4 verses
Oba ekiseera kirituuka ku nkya
Okumasamasa kwe ne
kulabika;
Yesu ng’ajja n’ekitiibwa
ekinene
Okututwala ewuwe.
Chorus:
Ayi Mukama, olijja ddi?
Tulabe (a)maaso go!
Yesu ajja, Aleruya,
Aleruya! Amina.
Aleruya! Amina.
2 of 4 verses
Buliba mu ttuntu oba
kawungezi,
Tuliba tuli (a)wo ng’ensi
yonna, yonna;
Effuuka omusana ogwaka
ennyo,
Mukama ng’atuddukide.
3 of 4 verses
Bamalayika ne bayimba
n’essanyu,
Era n’abanunule be
bonna wamu
N’ekitiibwa kye
ekyakayakan(a) ennyo,
Mukama bw’alijja
bw’atyo.
4 of 4 verses
Tuligenda n’essanyu
eteri kufa,
Teri ndwade, teri nnaku,
teri ntisa;
Tuliyita mu bire wamu
ne Yesu
Ng’atutwala ffe e-wuwe.