232 – Netaaga Okuwulira
232. Netaaga Okuwulira.… ~ Sing Them Over Again…
1 of 3 verses
Netaaga okuwulira
Ku by’obulokozi,
Nnyongere okubimanya
(E)bigambo bya Yesu
Bye bigambo ddala
Eby’obulokozi.
Chorus:
(E)bigambo byo birungi nnyo,
Eby’obulokozi,
(E)bigambo byo birungi nnyo,
Eby’obulokozi.
2 of 3 verses
Mukama yekka atuwa
(E)bigambo by’essanyu,
Ebireeta omwononyi.
Eri obulamu,
Mukama by’atuwa
Bitutuse gy’ali.
3 of 3 verses
Ebigambo bya Mukama,
Mwe mul(i) obulamu
Era bituwa eddembe,
N’amanyi g’omwoyo.
Ebibi biggwawo,
Mu linnya lya Yesu.