102 – Yesu Ali Ku Luggi

S.D.A Hymnal 566

102. Yesu Ali Ku Luggi.… ~ There`s a Stranger at the Door…

1 of 4 verses

Yesu ali ku luggi,
ggulawo
Akulindiridde nnyo,
ggulawo
Muyingize tagenda,
Ye mutukuvu Yesu,
Omwana wa Katonda,
Ggulawo.

2 of 4 verses

Wulira akuyita,
wulira
Londa ye va ku by`ensi,
wulira
Ali awo ku luggi
Anakuwa essanyu
Olw`erinya ly(e)
egganzi,
wulira.

3 of 4 verses

Ggulawo (o)mutima gwo,
Ggulawo…
Bw`onolwa (a)nakuvaako,
Ggulawo…
Ye mukwano gwo ddala.
(O)mutima gw(o)
agutaasa,
So takwabulirenga,
Ggulawo…

4 of 4 verses

Yesu ava mu Ggulu,
Ggulawo…
Alye awamu naawe
Ggulawo…
Alyok(e) akulokole,
Kkiriz(a) okwagala kwe,
Akutwale mu ggulu.
Ggulawo…

 

Back to top button