152 – Ka Nkusemberere

152. Ka Nkusemberere.… ~ Nearer, My God to Thee…

1 of 5 verses
Ka nkusemberere (O)mulokozi!
Oba musalaba, ka ngwetikke!
Oluyimba lwange,
Kusemberera Ggwe
Ka nkusemberere, (O)mulokozi

2 of 5 verses
Ng’emmomboze kunsi,
Buwungedde,
Sirina wendaba Kiwummulo;
Okusaba kwange
Ku kusemberera
Ka nkusemberere (O)mulokozi.

3 of 5 verses
Ondag(e) ekkubo lyo
Mbeere omwo
Yonna gy’onootwala,
Mpa Ekisa kyo
Mu ntambula yange
Nkusembererenga
Ka nkusemberere (O)mulokozi

4 of 5 verses
Ku nkya nga nzuukuse, nkuyimbire;
Mu bizibu byange, Ntendereze,
Nkusemberere nnyo, Mu mbeer(a) ey’ennaku”
Ka nkusemberere (O)mulokozi

5 of 5 verses
Bw’olijja okuntwala,
eyo gy’oli Ndiyita mu bbanga,
Nga nsanyuka Oluyimba lwange,
Kukusemberera
Ka nkusemberere (O)mulokozi

Back to top button