140. Mukama, Nze Nina Ebibi.… ~ Just As I Am…
1 of 4 verses
Mukama, nze nin(a) ebibi,
Naye ekisa kyo kingi;
Ompise okujja gy’oli,
Nz’omwononyi, Yesu, njijja.
2 of 4 verses
Yesu, Omwana gw’endiga,
Olw’ebibi byange wafa,
(O)lw’omusayi gwo nkukkiriza,
Nz’omwononyi, Yesu njijja.
3 of 4 verses
Ajja gyendi simugoba,
(E)kigambo kyo nkikkiriza,
Kub(a) okulimba toyinza,”
Nz’omwononyi, Yesu, njijja.
4 of 4 verses
Okwagala kw(o) okunene
N’ekisa kyo bimpaludde;
Kye njagala, kusenga Ggwe,
Nz’omwononyi, Yesu, njijja.