51 – Ggwe Yesu Oli wange

S.D.A Hymnal 608

51. Ggwe Yesu Oli Wange… ~ Blessed Assurance…

1 of 3 verses

Gwe Yesu oli wange ddala
Ggwe wekka ggwe
ekitiibwa kyange;
Ndimusika w’obulokozi
Nagulibwa na musaayi gwo.

Chorus:

Nze nakuyimbiranga Yesu
Nga nkutendereza bulijjo;
Nze nakuyimbiranga Yesu,
Nga nkutendereza bulijjo;

2 of 3 verses

Nze ndi wuwo era nsanyuka
Nga nnenger(a) essanyu lyo
lyonna;
Bamalayika bo nga bajja,
Nga bandaga okwagala kwo.

3 of 3 verses

Mu Ggwe nnina ekiwummulo
njijudd(e) essanyu lyo eringi;
Nyimusibwa mu mwoyo
gwange
Ntadde essubi lyonna mu
Ggwe.

Back to top button