52 – Mpa Ekitabo Ekitukuvu

S.D.A Hymnal 272

52. Mpa Ekitabo Ekitukuvu… ~ Give Me The Bible…

1 of 4 verses

Mpa Ekitabo
Ekitukuv(u)
ennyo, Kindag(a)
ekkubo nze akooye
nnyo
Tewali kirobera
kwaka kwabyo,
Birag(a)
Omulokozi nga
bwali.

Chorus:

Mpa Ekitabo
Ekitukuv(u) ennyo,
Ndyoke ndagirirwe
ekkubo lyo.
Nnu’ngame mu
mateeka agalimu
(O)kutuusa ku
lunaku lw’olidda

2 of 4 verses

Bwe mba munaku
ye ttabaaza yange,
Ekibi bwe
kindeter(a) okutya.
Mukama ondage
Ekigambo kyo,
Olw’okwaka
kwakyo
nkulabenga

3 of 4 verses

Ommulisizenga
ekkubo lyange,
Ompe okudduka ensi
eno.
Ng’onjakiz(a)
ettabaza y’omu
ggulu
Endag(e) ekkubo
ery’emirembe.

4 of 4 verses

Omp(e) ettabaza
ey’Obulokozi,
Enteeketeeke
olw’okudda kwo.
Ndab(e) omusana
gwo ogw’omu
ggulu,
Mu kittibwa kyo
ekitaggwawo.

Back to top button