S.D.A Hymnal 368
96. Kiki Ekintukuza.… ~ What Can Wash Away My Sin?…
1 of 5 verses
Kiki ekintukuza?
Musayi gwa Yesu gwokka.
Kiki ekinnongosa?
Musayi gwa Yesu gwokka.
Chorus:
Musayi gwe gwokka
Gwe guntuza nze.
Tewali kirala
Musayi gwa Yesu gwokka.
2 of 5 verses
Mmanyi ekintukuza,
Musayi gwa Yesu gwokka.
Kye mpoza kiri kimu
Musayi gwa Yesu gwokka.
3 of 5 verses
Tewali kintu kyonna,
Musayi gwa Yesu gwokka.
Tewali kye nkola nze,
Musayi gwa Yesu gwokka.
4 of 5 verses
Essuubi lyange lyonna,
Musayi gwa Yesu gwokka.
(O)butukirivu bwange,
Musayi gwa Yesu gwokka.
5 of 5 verses
Era mutendereza,
Olw’omusayi gwe Yesu,
Aweebwe ekitiibwa,
Olw’omusayi gwe Yesu.