05 – Ka Tumusinze Mukama Waffe
S.D.A Hymnal 83
5. Ka Tumusinze Mukama Waffe… ~ O Worship The King…
1 of 5 verses
Ka tumusinze Mukama
waffe,
Katuyimbe ku kwaga-l(a)
okungi
Oyo yekka kye kiddukiro
kyaffe,
Ekitiibwa kyonna kimwetoloola.
2 of 5 verses
Tuyimbe ku kisa kye ekingi,
(E)Byambalo bye gwe
(o)musa-na gw’ensi;
Okubwatuka kwe kutiisa
byonna,
Amakubo ge gali ne- mu
mpewo.
3 of 5 verses
Obuyinza bwe era n’entiisa,
Birabikira wonna ku bire;
Eggulu n’eraddu n’omuyag(a)
era,
Byonna baddu be abamuwereza.
4 of 5 verses
Wansi w’eggulu
(O)mugulumizu,
Wateekebwa dda
Enku-luze yo;
Ye nsi gye watonda
n’ogyetolooza,
Ennyanja zonna
nga en-salo zaayo.
5 of 5 verses
Ani ayinza okunyumiza,
Ebyo, (O)mugabi waffe,by’ogaba?
Eby’ekisa kyo,
by’ebitwewunyisa;
Katonda, (O)mulokoz(i),
Era- Kabaka!