29 – Ggwe Yesu Omulokozi

S.D.A Hymnal 276

29. Ggwe Yesu Omulokozi… ~ My Jesus I Love Thee…

1 of 4 verses

Ggwe Yesu Omulokozi,
Nkwagala,
Ebyonono byange
byonna
mbikyaye.
Ggwe wekka omwagalwa
Wange Yesu,
Mukwano gwange Yesu,
Nkwagala nnyo

2 of 4 verses

Kuba ggwe wasooka,
nange nkwagala.
Wangula n’omusaayi
gwo
bwe wafa.
Ku lw’engule
(e)yamaggwa
Ka nkwagale.
Mukwano gwange
Yesu
Nkwagala nnyo.

3 of 4 verses

Mu ssanyu ne mu
nnaku,
nze nkwagala,
Nasuutanga erinnya
lyo
bulijjo.
(O)kufa nga
kusembedde
Ndyo-gera nti;
Mukwano gwange Yesu
Nkwagala nnyo.

4 of 4 verses

Bwe ndiba nga ntuuse
eyo mu ggulu,
Ndikusinza
n’okwagala
okungi.
N’okuyimba ndiyimba
n’essanyu nti:
Mukwano gwange
Yesu
nkwagala nnyo.

 

Back to top button