231 – Kristo Oba Balaba

231. Kristo Oba Balabba?.… ~ Christ or Barabbas?…

1 of 5 verses

Nakola ntya Yes(u) Ono,
(O)mulokozi wange?
Ayambadde (e)fulungu
n’engule (e)yamagwa.

Chorus:
(E)kibuuzo kye kino,
(e)kyokuddamu kiki?
Nakomerera Yesu Kri-sto,
Balabba ateebwe?

2 of 5 verses
Nalek (a)omubb(i) agende,
Omuntu ow’ekibi?
Oba Krist(o) Oyo Yesu,
atalina kibi?

3 of 5 verses

Kibuuzo nga kikulu!
Kizibu nnyo ddala!
Ekisakye nga kingi,
nzenna kinkankanya!

4 of 5 verses

(E)nkomerero ng’etuuse,
ens(i) ery’egaan(a) etya?
(E)bigambo nti, “Twala eri,
Twal(a) okomerere!”

5 of 5 verses

(O)mukristayo wulira,
era n’omwonoonyi,
Ekibuuz(o) ekyentiisa,
onokiddam(u) otya?

Back to top button