230 – Yogera Nange Yesu
230. Yogera Nange Yesu.… ~ Speak to My soul…
1 of 3 verses
Yogera Nange Yesu
Mu ddobooz(i) eddungi
Mpulire ng’ong’ogamba nti,
“Guma toli wekka,”
Nnongosa omutima
mpulir(e) eddoboozi
Nyimbeng(a) amatendo go,
nsanyukire mu Gwe.
Chorus:
Ontegeeze n’ekisa
Mu kisa ky(o) ondage,
Nti mu Gwe ndiwangula,
Ndifuna eddembe.
Ontegeeze kakano,
Mu kisa kyo (e)kingi;
Mpulire bw’ong’ogamba nti
“Guma toli wekka.”
2 of 3 verses
Tegeez(a) ababo bonna
balag(e) ekkubo lyo;
Obajjuz(e) essanyu lyo
(o)bawe (o)kukusaba.
Bawengayo (o)bulamu
bwabwe bonna gyoli,
Bakole (o)mulimu gwo
(o)kutuusa lw’olijja.
3 of 3 verses
Mukama mbikkulira
nga banabbi (a)b’edda,
Kye nsana okukola
ntuuse (a)mateeka go;
Ka nkugulumizenga,
Nate ka nnyimbega,
Nkolenga by’oyagala,
nkutenderezenga.