227 – Twala Obulamu Bwange
227. Twala Obulamu Bwange.… ~ Take my Life and Let It…
1 of 5 verses
Twala obulamu bwange
Obutukuze bwonna
Twala emikono gyange,
Gikozese byoyagala
Gikole byoyagala
2 of 5 verses
Twala ebigere byange,
Bitambule ku lulwo
Twala eddoboozi lyange,
Likuyimbire kabaka
Likuyimbire wekka!
3 of 5 verses
Twala na kamwa kange,
Kajjuz(e) obubaka bwo
(E)Bintu byange
(e)by’omunsi,
Bikozese byo’oyagala
Bikole byoyagala
4 of 5 verses
Twala ebyo bye njagala,
Byonna bifuuke bibyo;
Twala omutima gwange
Ogufuule entebe yo
Entebe kw’ofugira
5 of 5 verses
Twala okwgala kwange,
Kwonna kubeere ku kwo
Ntwala nzenna mbe wuwo
Emirembe egitaggwawo
(E)Mirembe egitakoma