226 – Mukama Mulokozi
226. Mukama Omulokozi ~ He Hideth My Soul…
1 of 4 verses
Yesu ye Mulokozi ow’ekitalo
(O)Mulokozi eyewuunyisa;
Akwek(a) obulamu bwange
Mu lwazi,
Mwendab(a) emigga
eye’essanyu
Chorus:
Akwek(a) Obulamu bwange mu
lwazi
(E)Kisiikirize mu ddungu,
Ankweka mu kwagala kwe
okungi
N’ankuuma n’omukono ggwe
N’ankuuma n’omukono ggwe
2 of 4 verses
Yesu ye mulokoz(i) ow’ekitalo,
Aggyawo omugugu gwange;
Ampanirira n’esinyenyezebwa
Ampa amaanyi bulijjo
3 of 4 verses
Ampa emikisa buli kissera ,
Anzijuz(a) ekitiibwa kye;
Ndiyimba nga nzuukidde mu
kitiibwa,
Ku mununuzi omwagalwa
4 of 4 verses
Bwendyambazibwa
obutukuvu bwe,
Mmusisikane ku bire:
Ndiyimba n’abanunule
abangi
Ku bulokoz(i) obw’ekisa