223 – Mukama Omuyaga Mungi

223. Mukama Omuyaga Mungi… ~ Master The Tempest Is Raging

1 of 3 verses

Mukam(a) omuyaga mungi!
Gukunta nnyo ku nnyanja!
Ekizikiza ku nsi kingi
Sirina kiddukiro,
Tofaayo nga tufa ffenna,
Lwaki ggwe webase?
Twelalikiridde
ennyanj(a) eno
Eyinz(a) okutumira

CHORUS
Temutya mayengo na muyaga
Mu—gume!
Ennyanja nebwenesiikuka,
Ba dayimon(i)
Oba bantu wadde kiki!
Ennyanja teyinza kusanyawo,
Ekyombo Mukama ng’ali
mukyo—-“Byonna nze binfukamirira,
Mugume, Mugume
Bigondera eddoboozi lyange
Mwe temutya”

2 of 3 verses

Mukama nze nzize
wooli
n’obuyinike bungi
Omutima gwange
gukooye
Zukuuka ondokole;
Ebibi binnakuwazza,
Bigenda kunzita
Omulokozi wange
Mukama
Ggwe wekka ggwe
neesiga

3 of 3 verses

Mukama entiis(a) egenze
n’ennyanja yonna
nteefu
Lab(a) enjuba yange
etuuse,
N’ensi etangadde yonna
Mununuzi beera nange
Era tonvangako
Mu ssanyu ndituuka
emitala
Mu maka go mu ggulu.

Back to top button