213 – Mu Ggulu

213. Mu Ggulu ~ Heaven at Last…

1 of 5 verses
Ba malayika bayimba,
N’obwengula bwanukula;
(A)Mawulire galeetebwa-
Tuli mu ggulu!

Chorus:
Mu ggulu, Mu ggulu:
Kya ssany(u) okutuuka ffe mu ggulu
Mu ggulu, Mu ggulu (E)kitiibw(a) ekitakoma
Mu ggulu

2 of 5 verses
Ku miryango gya yasipa,
Ng(a) abatambuz(e) abatuuse
Omusana gweyongera- Tutuuse eka!

3 of 4 verses
(A)Maloboozi ag’eggonjebwa
N’akaloosa akawonya;
Wulir(a) ennyimb(a) Ez’essanyu-
Tutuuse eka

4 of 5 verses
Teri kutonyesa zziga,
Teri ssanyu liggwerera;
Tuliyimba nnyimba zokka-
Tutuuse eka!

5 of 5 verses
Yesu bwe bulungi bwayo,
Kye kitangaal(a) ekiwoomu
Tusuut(e) Omwana ge’Endiga-
Tutuuse eka!

Back to top button