210 – Abakunguzi Banaava Wa
210. Abakunguzi Banava Wa?… ~ Where are the reapera
1 of 4 verses
Abakunguzi bali ludda wa,
Baggye abantu mu ns(i) ey’ekibi?
N’ekigambo kye ekya mazima,
(O)kutuus(a) omulimu nga guwedde
CHORUS:
Abakunguzi banaava wa?
Abanaakola mu ssany(u) eringi
Abaneewayo, tukungaanye,
Abantu be bave nu ns(i) embi?
2 of 4 verses
Mu banoonye mu makubo gonna;
Mulimu ababulidde omwo;
Munoonye wonna mu buli kifo,
Muleete bonna ow’ensi empya
3 of 4 verses
Ennimiro wonna zengedde nnyo,
Ensi erinze amakungula;
Naye abakozi batono nnyo,
Tunafiirwa bingi bwe tulwawo.
4 of 4 verses
Mujje mw(e) abantu be n’ebiwabyo,
Tukungulire wam(u) abantu be;
Tugumiikiriz(e) omulimu,
Tukugulire mu ssany(u) eringi