204 – Okuva Lweyajja Mu Nze
204. Okuva Lweyajja Mu Nze… ~ Since Jesus Came into My Heart…
1 of 4 verses
Nga nafun(a) okukyusibwa mu bulamu,
Okuva lweyajja mu nze!
Nin(a) ekitangaala kyendudde nga nnoonya,
Okuva lweyajja mu nze
CHORUS:
Yesu yajja mu mutima (gwange)
Yesu yajja mu mutima (gwange)
Nzijudd(e) essanyu lingi mu mwoyo gwange;
Okuva lwe yajja mu nze
2 of 4 verses
Nakoma okubulubuuta mu ns(i) eno;
Okuva lwe yajja mu nze,
N’ebibi byange byonna byasangulibwa;
Okuva lwe yajja mu nze
3 of 4 verses
Nnin(a) essuubi eddamu ery’olubeerera
Okuva lwe yajja mu nze Sirina
kubuusabuusa kwonna munze
Okuva lwe yajja mu nze
4 of 4 verses
Nnin(a) essuubi okub(a) omulamu nate;
Okuva lweyajja mu nze
Era nnengera emiryango gy’eggulu;
Okuva lwe yajja munze