200 – Nsanyukira Ekigambo Kino

200. Nsanyukira Ekigambo Kino… ~ I am So Glad That Our

1 of 4 verses
Nsanyukila ekigambo kino;
Yesu Mukama atwagala nnyo,
Birimu bingi ebisanyusa; Ekyo ekisiinga nti,
nze nkwagala.

Chorus:
Anjagala, ye anjagala;
Kya kitalo (O) kunjagala!
Anjagala, olwekisa kye,
Nange era mwagala.

2 of 4 verses
Bwemba nnyonona
Ne mwerabira,
Yesu tandeka kubula ddala;
Ampita mangu okumweyuna Ye
Er(a) anjijukiz(a)
Okwagala kwe.

3 of 4 verses
Bwe nditunuulira
“ekitiibwa kye,”
Ndiyimba ntya
bwe siyimba bwentyo?
Nnyimba emirembe
n’emirembe;
Yesu kik(i) ekyakunjagaza
nze?

4 of 4 verses
Anjagala era mmwagala Ye,
Yakka mu nsi Olw’okutufiririra;
(O)kwagala kwamuleeta Ku muti,
Yesu atwagala ffe bwagazi.

Back to top button