177 – Bwe Ndimala Omulimu

177. Bwe Ndimala Omulimu.… ~ When My Life’s work Is Ended…

1 of 4 verses

Bwe ndimal(a) omulimu ku nsi,
Nentuuka gy’ali
Era nga nnyambadd(e) ogwo
ogutafa;
Ndi mutegeera Yesu, nga
ntuuse emitala,
Era n’essanyu alinnyaniriza

Chorus:

Nze ndimu-tegeera Yesu
Nga nnyimiridde kumpi naye;
Nze ndimu-tegeera Yesu
Olw’enkovu z’emisumaali

2 of 4 verses

Bwe ndiraba ku maaso ge
ndibeera n’essanyu,
Ndimwebaza olw’ekisa ky’(e)
ekingi;
Okusaasira kwa
Katonda tekusingika
Atusanyiz(a) ebifo mu maka ge.

3 of 4 verses

Be twagala bwe batuvaako,
tulin(a) essuubi,
Nga tubasiibula tujjukira nti:
Mu ggulu tulibalaba,
awatali kabi,
Okusooka netaaga ndabe Yesu.

4 of 4 verses

Ampe ekyambalo kye ekyeru
ng’anyingiza,
N’antuusa eyo etali
kukaaba;
Gy’endibeera n’ennyimba
ez’essanyu bulijjo,
Negomba nsooke nsisinkane
Yesu.

Back to top button