170 – Sitwalibwa Bugaga

170. Sitwalibwa Bugagga… ~ Is My Name Written There? …

1 of 3 verses

Sitwalibwa bugagga
feeza oba zaabu,
Njagala bya mu ggulu
N’okutuuka gy’oli;
Mu kitabo kya Yesu
Omuli amannya,
Mbuulirako,
Mukama,
Mulimu eryange?

Chorus:
Mu kitabo omwo
omuli amannya,
Ontegeeze,
Mukama
mulimu
eryange?

2 of 3 verses

Ebibi byange bingi
Binzitowerera,
Naye omusaayi gwo
Tegulemwa kibi,
Yesu Gwe
wansuubiza
Mu byawandiikibwa
Ebibi byaffe byonna,
(O)kubifuul(a)
ebyeru.

3 of 3 verses

Mu kibuga kyo Yesu,
kye wateekateeka
N’ekitiibwa ekingi
Ekimasamasa,
Ekibi gye kitajja,
Kwonoona baana bo,
Okuli abakuumi,
Nange
wampandiika?

Back to top button