164 – Olunaku Olulungi

S.D.A Hymnal 205

164. Olunaku Olulungi Lujja… ~ The Golden Morning is Fast Approaching…

1 of 4 verses

Olunaku olulungi lujja,
Yesu lw’ajja;
Okutwala abaana be fenna,
mu maka gaffe.

CH:

Kitiibwa kimasamasa
n’amanyi eby’ekitalo ennyo!
Birigoba enzikiza,
entaana ziribikkuka.

2 of 4 verses

Enjiri ye egenda ebuna,
mu buli ggwanga,
Yesu alyoke ajje mangu nnyo
(e)’ngombe ng’evuze

3 of 4 verses

Anajja ne bamalayika be
ng’amasamasa,
Yesu ajja okututwala
ffe eteri kufa.

4 of 4 verses

Abantu munsi bonna abaafa
tulibalaba,
Era (a)maziga gaffe gonna,
Agasangule

Back to top button